Ekiwayi ky’abavubuka ekirala ekimanyiddwa nga Sauti ya Jama kyabulidde eyesimbyewo ku bwa Pulezidenti Amama Mbabazi , abavubuka bano bagamba nti beegasse ku Museveni kuba y’alina enteekateeka ennungi gyebali.
Abavubuka bano nga bakulirwamu Mukiibi, batudde ku Hotel Batva emisana gya leero. Wabula ekibinja kino mwemubadde ne Norman Tumuhimbise ye agamba bano kirabika baabawadde obubaasa.