Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agamba nti ekizibu ky 'amawanga agali mu Africa bwebukulembeze.
Katikkiro agamba nti Abakulembeze bangi mu Africa naddala mu Yuganda tebamanyi wa gyebatwala ggwanga era nga okwogera bino abadde aggalawo Ekisaakaate kya Maama Nnaabagereka ekya Gatonnya 2018 ekibadde ku Ssomero lya St. Joseph's Of Nazareth High School e Kavule Katende mu Disitulikiti y'e Mpigi .
Ekisaakaate kino kiwomwamu omutwe Maama Nnaabagereka buli mwaka okutumbula Obuwangwa n'ennono wamu n'empisa mu baana.
"Ekizibu ky Africa, ekizibu kya Yuganda bakulembeze , omukulembeze okumanya wa gy'atwala baakulembera, okubayiiyiiza , okukola ebibaganyula, okubabuulira ekituufu , n'ebyelaliikiriza abantu mu Yuganda leero bya bukulembeze, so tulina okusomesa abaana obukulembeze ". Katikkiro Mayiga bw'ayogera.