Kyaseka Towers ekisangibwa e Makerere mu Kampala kyerindiggudde ku ttaka mu ttuntu lya leero era abasatu nebakakasibwa nga bafiiriddewo ate abalala musanvu nebaddusibwa mu ddwaliro nga taasulewo yaali ku mimwa gy’abantu .
Police n’ekitongole ky’akabonero akamyufu ekya Uganda Red Cross baggyeyo emirambo 3 ate abalala musanvu nebataasibwa , baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga biwala ttaka .
wabula bwetwogeddeko n’abamu ku bazimbi okuliraana awagudde enjega eno bagamba nti nannyini kizimbe kino muyindi nga kya myaliiro esatu era kubaddeko ekirabo ky’emmere , ettundiro ly’eddagala (Pharmacy), ekkuumiro ly’emmotoka (Parking )wamu ne Business endala nnyingi
Ebidduka ebiwerako byonoonese nga bisikiddwa nebitwalibwa ku Police e Wandegeya ..
Lino litusakiddwa Nasser Kayanja .