Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga ajjukizza era n'ategeeza Gavumenti nga ekkanisa bw'etali mulabe waayo ( Gavumenti) .
Bw'abadde ayogera ku mukolo gw'okuziika eyali Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda, Dr. Livingstone Nkoyooyo ku kiggwa kyabajulizi Abakulisitaayo e Namugongo, Dr. Cyprian ategeezezza nti ekkanisa eriwo okuwabula Gavumenti era n'agamba nti waliwo abakungu ba Gavumenti abagiwa amawuire amakyamu ku bakulembeze b'eddiini nga abantu abo beenonyeza byaabwe.
Ye Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda, Rt. Rev. Stanely Ntagali nga y'akulembeddemu okusabira Omugenzi Nkoyooyo, agambye nti eggwanga lino lyetaaga okusabirwa n'okuwonyezebwa abakulembeze basobole okufa ku by'etaago bya bannansi bebakulembera .