Ebikumi n’ebikumi by’abagoberezi ba Yesu Kulisitu beegasse ku nsi yonna okutambuza omusaalaba okujjukira olunaku olwokutaano Yesu lweyabonyabonyezebwa ng’atambuza obusaalaba .
Olunaku luno Yesu Kulisitu lweyabonyabonyezebwa , okutulugunyizibwa , okutambuza omusaalaba wamu n’okukomererwa nga kati wayise emyaka 2016. Lweluvaako okufa kwe era okututuusa ku mazuukirage .
Mu Yuganda n’okwetooloola ensi yonna , Abakulistaayo beetikka omusaalaba ougabana ku bulumi Yesu Kulisitu bweyayitamu . na mukyo olwaleero abakulembeze b’enzikiriza bakulembeddemu okutambuza omusaalaba , okutendereza ate nga abalala basaba mu kasirise .
Wano mu Kampala abakkirizza bakungaanidde Nakivubo mu Kisaawe mu kusaba okwawamu .
Wabula mukubuulirakwe , Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Yuganda Stanely Ntagali asabye okukuuma obukkakkamu wakati mu mbeera nga eggwanga eby’obufuzi bilitadde ku bunkenke .