Ekya Besigye okukwatibwa nakyogerako mu 2023 – Prophet Mbonye

Omusumba w’Abalokole Prophet Elvis Mbonye avuddeyo najjukiza Bannayuganda nti nga ku lwokubiri nga 31 Octotber 2023 yavaayo nalagula nga bwewaliwo Munnabyabufuzi owamaanyi eyali agenda okubulawo, abantu batandike okwogera nti bamuwambye. Ono yayongerako nti kyemutamanyi kiri nti; ono agenda kulabika wabenga awatali kyabaddewo kuba talina buzibu. Yoyongerako nti kino kigenda kubeerawo era abantu bagenda kwewuunya; nti ono alazeewa?.
Wano Prophet Mbonye wajjuukiriza Bannayuganda ebyatuuseewo ku Rt. Col. Dr, Kizza Besigye eyabuzibwawo mu Ggwanga lya Kenya wabula oluvannyuma lwa Mukyala we Winnie Byanyima okuvaayo nategeeza nti ono yawambibwa ku lwomukaaga, Besigye ne Hajji Obed Lutale baleeteddwa mu Kkooti nebavunaanibwa emisango egyenjawulo.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply