Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; ” Tosobola kutoloka kuva mu Sobibor, bweyagamba nga afuluma ekibanda kya firimu mu Ghetto mu Kisenyi mu myaka gya 1990 eyo.
Firimu eyali eriko ebisera ebyo baali bagiyita ‘Escape from Sobibor,’ emboozi eyali ekwata ku nkambi eyitibwa Sobibor eyali mu Nazi Germany mu myka gya 1940 gyebatulugunyiza wamu n’okutta aba Jew. Okuva olwo neyetuuma Sobibor. Emyaka bwegiyitawo nebalyatula Sobbi.
Bwetwasisinkana nga mu bidongo oba kiraabu oba mu bikonde oba mu gym, nga andaga knuckle eyali erabika nga ejjinja eriteekeddwa ku ngalo ye. Era twasanga nti ‘Sobbi alina knuckle eringa dduulu’.
Wadde yali mukyaamu naye yali mukwano ggwange okumala emyaka egiwerako. Mu nkukutu oluusi ne mu bantu abadde atera okukyogerako nga bwabadde akozesebwa abanene mu Gavumenti okukola ebikolobero nga okubba wamu n’okugoba abantu ku ttaka ku lwabanene ate nebasibamu ye yekka.
Ng’abakubi b’ebikonde abalala mu myaka gyaffe babakozesezza okututulugunya wabula ate oluvannyuma nebabaggyawo nga tebakyabetaaga, Sobbi yayise mu kyekimu. Mu kalulu ka 2021, bamukozesanga okutulondoola wamu nokutuccunya nze owuwe, mukwano ggwe owedda okuva mu ghetto.
Yakulemberamu okuwamba wamu n’okubuzaawo mikwano gyaffe egisoba mu 50 omwali ne banne bwebakubanga ebikonde nga Vegas Lubega.
Abo abasimattuka nebakomawo bebatunyumiza ebyabatuukako nga bali ku Kizinga Lwamayuba e Kalangala gyebabateekanga nebabatulugunya nga abaddu ebbanga eriwerako.
Batunyumiza ku ngeri abamu gyebattibwa nebabagabula zi ggoonya. Abamu tebaddangamu kulabwako. Ebbanga eryo lyonna yali akolera Kaka Bagyenda ngakyakulira ISO.
Lwenasembayo okumusisinkana emyezi 6 egiyise (yeyanoonya) yangamba nti yali akolera Gavumenti emirimu emikyaafu gino kuba yengeri yokka eyali esobola okumukuuma nga mulamu. ‘Bro, okimanyi sikulinaako buzibu bwonna naye bwesikola kyebandagira, bajja kunziggyawo.’ bweyangamba.
Namujjukiza ku Zebra, Kitatta, Isma Ichuli, n’abalala bangi abakozeseddwa n’oluvannyuma nebabaggyawo abo bennyini ababadde babakozesa. Namutegeeza nti oluvannyuma lwokukukozesa bajja kukuggyawo mu ngeri embi ennyo.
Tosobola kubeera omu ku bbo, era tebali kwagala. Bajja kukozesa ebikyamu ku bantu bo era abantu bo bwebanakukyaawa ennyo bajja kukuggyawo nga kasasiro.
Yemulugunya ku bantu beyatandika nabo bangi naye olwokuba balina bebamanyi mu Gavumenti, kati bafuna dda woffiisi ezamaanyi ye nebamuleka ku street okubakolera obuzannyo bwabwe.
Namusaba ambuulireyo omuntu omu okuva mu massekkati eyakosebwa okujoonyesa abantu be ali obulungi teyampaayo yadde nomu. Namutegeeza nti tabaako kyasuubira kirungi wabula ekisingayo obubi.
Bwenalabye omubiri ggwe nga gugaŋŋalamye ng’embwa efudde nenzijukira ebigambo bino. Sobbi yali musiru okulowooza nti omu ku bbo, ekyenaku nti bonna tebayiga.”