Ekyalo kibunye entiisa olw’ettemu – Buyikwe

Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Ddungi mu ggombolola ye Ngongwe mu district y’ e Buyikwe, bwebagudde ku mulambo gwomuvubuka abadde yabula ku kyalo ennaku nnya emabega nga yattibwa.
Moses Kinene owemyaka 18 abadde Yabula, omulambo gwe guzuliddwa mu Kibira nga guvunze, ekisuubirwa nti yatemulwa oluvanyuma omulambo gwe nebaguganzika mu miti.
Omulambo gulabiddwa abaana ababadde bakedde okutyaba enku, nga bebalayizza enduulu esombodde abatuuze.
Maama womugenzi ategerekese nga Nakityo wakati mu maziga, agambye nti akyebuuza kiki ekyassizza mutabani we.
Wabula abamu ku batuuze balumirizza abasamize nti bandiba nga bebaakoze ettemu lino olwebikolwa byobulogo nokusaddaaka ebyeyongedde ennyo mu kitundu.
Police y’e Buyikwe ejjeewo omulambo negutwalibwa mu ggwanika okwekebejjebwa ngokunoonyereza bwekugenda mu maaso. Kitalo !

Leave a Reply