‘Ekyasse Ziggy Wine butamira ddagala lye ng’asiibuddwa’ – Andrew Mwenda

Andrew M. Mwenda yavuddeyo ku mukutu nategeeza nti:
“Olunaku olwaleero nakyalidde eddwaliro ly’e Mulago okufuna ebituufu ku nfa ya Ziggy Wine. Yatuusibwa mu ddwaliro ku ssaawa ssatu n’ekitundu ez’ekiro nga 21-July, nga yaleetebwa abazira kisa nga alina ebiwundu ku mutwe nga engalo ze olw’okuna n’okutaano ku mukono ogwaddyo zimenyese. Eddwaliro balitegeeza nti yali agudde okuva ku piki piki era yali tamanyiddwa bwatyo naweebwa erinnya ‘Zulu’.
Eky’omukisa omusawo w’ebinywa Dr. Muhumuza yeyamujanjaba nantegeeza nti nga 24 ab’oluganda lwe bajja nebamuzuula. Yatereera era nasiibulwa nga 25.
Wabula bweyasiibulwa, teyamira ddagala lye nga bweyalina okulimira ebinywa nebiddamu okwesiba (Convulsion) era nabeera bubi, yatwalibwa mu ddwaliro nga 31. Wabula basooka kumutwala mu ddwaliro e Nsambya nebalimba nti yali atulugunyiziddwa. E Nsambya babasindika Mulago, nayo gyebalimbira nti bamutulugunyizza. E Mulago bawandiika ekigambo ‘Query’ ku file eyamuyingiza mu ddwaliro omulundi ogw’okubiri.
Obuzibu obwatuukawo olw’okuba Ziggy teyamira ddagala lye bulungi bweyasiibulwa kyekyamuviiriddeko okufa. Omusawo yangambye nti Ziggy obutamira ddagala lye kyaleetera ebinywa okwekwata (Convulsion) n’ebinywa omubisi okuva mu mawuggwe ekiyinza okuba kyaleetawo okukala kw’amawuggwe.
Amawulire ga Yuganda kati gagenze eri embwa oba nga kati gafumbekeddemu emisege kuba babadde bawandiika wamu naba ‘Social Media’ nti yawambibwa natulugunyizibwa so nga waliwo obujulizi e Mulago. Kyantwalidde eddakiika 40 zokka okwogera n’abasawo wamu n’okutunula mu biwandiiko! Kiswaza nnyo!”
 
 
Bobi Wine People Power – Uganda Uganda Police Force Ziggy Wine Joel B. Ssenyonyi
Leave a Reply