Ekyeya kirumbye ebyalo ebiwerako mu Disitulikiti ey’e Mubende era wano abantu basitukiddemu nga eyatega ogwekyayi bateme empenda mwebanaayita okwetakkuluzaako ekizibu kino.
Mu Gombolola ye Mannyogaseka – Kiganda, eno abaayo amazzi kati bakozesa ge gamu n’ebisolo so nga omutindo gwago ssimulungi ekirese okweraliikirira nti kyandibaviirako okulumbibwa namunkukumbo ow’endwadde .
Ssentebe w’olukiiko olukulembera eggombolola ye Mannyogaseka , Tandeka Jotham agamba nti nga bbo abakulembeze bagasseeko okusima enzizi bwaguuga nti kiyinza okuyambako ekitundu mwebali kyokka mwennyamivu kubanga ebintu bino biri kinnya nampindi n’ennyanja Wamala kyokka obusobozi obwetuusaako amazzi eg’ennyava nabwo bulabika nga bwabafuukira ekizibu osanga singa baali baagafuna bandibadde mu mbeera eno .