Stanbic etonodde amalwaliro e Nakaseke ebikozesebwa mu bujanjabi
23 — 10Omuwendo gwabafudde omuliro gwe Kigoogwa baweze 15 – Poliisi
23 — 10Bannakibiina kya National Unity Platform 16 abavaayo nebakkiriza emisango gyokulya mu Nsi yaabwe olukwe mu Kkooti y’amaggye e Makindye okuli; Olivia Lutaaya, Kakooza Muhydin, Rashid Ssegujja, David Mafabi, Robert Christopher Rugumayo, Abdul Matovu, Mesearch Kiwanuka, Simon Kijjambu, Ibeahim Wandera, Stanely Lwanga, Steven Masaakaru, Ronald Kijjambu, Asubat Nagwere, Matovu Sharif ne Swaibu Katabi boozezza ku munye Omulamuzi wa Kkooti y’amaggye bwabawadde ekibonerezo kyakusibwa emyezi 3 nenaku 22 lwakugezaako kumamuulako Gavumenti. Bano era abalabudde okwewala okuddamu okubeera n’ebintu byebitongole byebyokwerinda.
Wabula kino abasibe bakiwakanyizza ngabagamba nti bagenda kujjulira kuba babadde bamaze ku alimanda ebbanga erisoba mu myaka 3 nga babadde basuubira okuyimbulwa olwaleero. Bano balajanidde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abasonyiwe bayimbulwe oluvannyuma lwokukiriza emisango. Omulamuzi abategeezezza nti balina enaku 14 okujulira era Kakooza nategeeza nti bagenda kujjulira.
Bbo banaabwe 12 abatakiriza misango gino bakyagenda mu maaso nokuwozesebwa era nga oludda oluwaabi lwakuleeta omujulizi waalwo owe 10 nga 16-November 2024.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe