Embalirira y’eggwaga eri mu buse 29 okuva ku 26 mu za Yuganda

Embalirira y’eggwaga ey’omwaka 2017/2018 enaawemmenta obuse obuwerera ddala 29 obwa ssiringi za Yuganda, esuubirwa okusomwa olwaleero olwo eve ku buse 26 ezaakozesebwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogukubiddwa amabega. 

Embalirira eno egenda okusomerwa  ku mulamwa ogugamba nti  “Ensonga  ezikwatagana n’okuyitimusa amakungula olw’okukulaakulana okw’awamu awamu n’okutandikawo emirimu emiggya mu Yuganda”.

Yeeyo egenda okuwemmenta obuse 29 nga Gavumenti esuubira okukozesa ebintudu 30 ku buli kikumi eby’embalirira eno ku bizimbe,  emirimu,  okusiga ensimbi,  entambula era nga bino bigenda kutwala obuse busatu mu obuwumbi lunaana ate amasannyalaze n’enkulaakulana ey’obugagga obw’ensibo birye obuse bubiri mu obuwumbi lwenda (900).

Byo ebyobulimi bigenda kufuna obuwumbi obuwerera ddala 846 mu obukadde 700 bwogeraageranya n’obuwumbi 823 mu obukadde 420 ezaaweebwa ebyobulimi mu mwaka gw’ebyensimbi ogukubiddwa amabega. 

Bingi ku mbalirira bijja nga bwegenda okusomwa olwaleero gyebujjako. 

Leave a Reply