Embalirira yokuziika Oulanyah esaliddwa

Minisitule y’Ebyensimbi evuddeyo netegeeza nga bweyasobodde okuddamu okwekeneenya embalirira eyakoleddwa okuteekateeka okuziika n’olumbe lwa Sipiika Jacob Oulanyah era negisala okuva ku buwumbi bubiri n’obukadde 500 negizza ku kawumbi kamu n’obukadde 800. Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’ensimbi Henry Musaasizi yavuddeyo nategeeza nti ebintu ebyo byonna ebyabadde bisoboka okwewalika okusaasanyazibwako ensimbi byagiddwa mu mbalirira eno.

Leave a Reply