EMBIZZI EZITTA ABANTU E MASAKA ZIWEDDE – PULEZIDENTI MUSEVENI

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeeza nti kaweddemu akaabo ababadde batta abantu e Buddu.
“Waliwo abantu abebuzaabuza nga balowooza nti bagenda kutaataganya emirembe egiri mu Yuganda, wano berimba. Tewali maanyi gasobola kutuwangula. Bano bawedde ku luno.
Bino abyogeredde Kololo bwabadde afulumya abasirikale b’ekitongole kyamakomera nategeeza nti ng’obuzzi bw’emisango bwonna, wabaawo obujulizi obulekebwa nga bwekiri ne ku batemu e Masaka baleseewo emikululo egitutuusa ku bonna abenyigiddemu era bakukwatibwa bavunaanibwe.
“Kyokka kyebasobola okukola kwekwelumya nga babuzaabuza abantu. Abantu bano batemula abakadde e Masaka nga babalumba mu ttumbi nebalowooza nti kyamaanyii! Kati nno muwedde.
Kyanuka nti baviiriddeko okufa kw’abakadde naye bubakeeredde. Bwetunabaleeta mu Kkooti n’obujulizi obubaluma bajja kutubuulira abantu ababasindika okutta baffe abakadde.
Mu Bayibuli, bagamba nti toteeka byabugagga mu maaso g’embizzi kuba tesiima. Mmwe abatta abantu muli mbizzi ezitasiima.”
Ayongeddeko nti abantu abali emabega wakino ekyokutta abantu e Buddu tebagenda kugenderawo nga tebavunaaniddwa.
“Kyeberabira nti tolina bwosobola kuzza musango mu Yuganda netutakufuna. Ojja kulekawo obujulizi obwengeri yonna okusobozesa Uganda Police Force okunoonya. Abantu abawerako bakwatiddwa era nabalala bakukwatibwa.”
Leave a Reply