Emboozi ennyimpi;
Ettaka eriweza hectares 516 nga lisangibwa Kagadi lya mugenzi John Kalete. Omukyala ow’emyaka 79 Nantalia Namuli kigambibwa nti yennyini lyo. Ettaka lino libaririrwamu obuwumbi 2 era nga nnyini lyo yaliyirirwa Uganda Land Commission.
Ssentebe w’Akakiiko ka COSASE Joel Ssenyonyi, agamba nti Peter Amara, bba wa muwala wa Nantalia yanoonya omusuubuzi era mukwano gwe Warren Mwesigye okugula okuliyirirwa kwa Nantali. Munnamateeka Richard Buzibira ayitibwa okuwandiika endagaano. Mu ndagaano eno Namuli atunda okuliyirirwa kwe okwobuwumbi 2 ku bukadde 318. Wabula akakiiko ka COSASE kafunye okwemulugunya nga 10 June 2021 okuva mu bannanyini ttaka abatuufu nga bakulembeddwamu John Kalete Antwane, nga bazzukulu ba John Kalete, nannyini ttaka omutuufu nga bayimiriza okusasula nga bagamba nti abagenda okusasulwa si bebatuufu.
Munnamateeka n’omusuubuzi balumiriza nti basasula Bannanyini ttaka obukadde 318. Akakiiko bwekoogeddeko ne Namuli wamu ne Amara bateegeezezza nti tebafunanga ku ttaka. Namuli yawuunikirizza Akakiiko bweyategeezezza nti ettaka sirirye.
Omusuubuzi agamba nti ekyokuwa omukadde obukadde 318, kwali kumuyamba butalindirira nnyo kufuna buwumbi 2 olwomusuubuzi afune amagoba gakawumbi 1 mu obukadde 682.
Ssente zasasulwa mu 2021, Namuli ne mukoddomi we tebaweebwa yadde e 100 ku buwumbi 2. Omusuubuzi Warren Mwesigye ne Munnamateeka Richard Buzibira era beyolekerako mu mivuyo gy’ettaka mukunoonyereza okwakolebwa Akakiiko ka Bamugemereire.
Ssentebe w’Akakiiko ka COSASE abasabye okuzza ensimbi obuwumbi 2.