Emikolo gy’olunaku lw’abazira gigenda mu maaso mu gombolola ye Ssi mu Disitulikiti ye Buyikwe .
Pulezidenti Museveni nga ye mugenyi omukulu ku mukolo guno atuuse era agenda kuggulawo ekijjukizo ky’abo abaafa mu kitundu kino nga balwanirira eggwanga lyabwe mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza .
Abantu ab’enjawulo abalondemu leero bagenda kuweebwa emidaali nga basiimibwa olw’ebyo byebaakola mu lutalo luno .