Emiranga gibuutikidde mutima beach

Emiranga, ebiwoobe n’okwazirana bibutikidde Mutima Beach esangibwa e Mpatta mu Distulikiti y’e Mukono okuva mu b’enganda wamu n’emikwano gyabo abafiiridde ku Nnyanja Nalubaale ekiro gyegulo eryato mwebabadde basaabalira bweryabidde. Poliisi ya Uganda nga ekolera wamu n’ekitongole ky’eggye lya UPDF eky’okumazzi bikyakola bwezizingirire okuzuula emirambo gy’abo ababadde ku lyato lino.

Leave a Reply