Emirimu gisannyaladde mu kibuga Jinja.

Olwaleero emirimu mu kibuga ky’e Jinja, abawagizi ba Col. Dr. Kiiza Besigye bazibye amakubo nga beekalakaasa olwa Ssentebe wa NRM e Jinja Moses Grace Baryeku nga ye nannyini Radio eyajjibwako nga Besigye yaakatandika okwogera, okulemesa omuntu waabwe okwogera.

Abantu basudde agayinja mu kkubo era nebatambuza bigere okugenda e Bugembe awali Radio eno, wabula police ebatangidde neebakubamu omukka ogubalagala neekwatako basatu.

Leave a Reply