Emmese ensombabyuuma eyebyewuunyo

ENSI N’EBYEWUUNYISA:
Emmese ensombabyuuma eyagibwa mu Ggwanga lya Tanzania emanyiddwa nga Magawa netwalibwa mu Cambodia okuyamba okutegulula landmine kyaddaaki ewumuziddwa ku mirimu oluvannyuma lw’emyaka.
Magawa, yatendekebwa ekitongole kya Belgium ekyobwannakyewa ekya APOPO ekitegeezezza nti emmese eno eyambye okutegulula landmine ezibadde mu kifo ekiweza 225,000 square metres mu myaka 5 nga kino kigeraageranyizibwa ku bisaawe by’omupiira 45.
Michal Heiman nga ono ye Programme Manager wa APOPO e Cambodia yategeezezza AFP nti emmese eno eyambye okuzuula landmine 71 nebibaluka ebirala 38 nga kati ekooye yetaaga okuwummula.
Abakugu bagamba nti emmese eno ebadde etemya ku bategulula webeera esanze landmine nga efukuula nti nga n’ekisinze okuyamba nti obuzito bwayo bubadde tebusobola kutegulula landmine zino.
Magawa ebadde ekozesa eddakiika 30 zokka okwandaaza ekifo kyekisaawe kya ttenna so nga bwebaba bakozesezza byuuma kyebeetagisa enaku 4.
Leave a Reply