empaka za miss curvy ziwakanyiziddwa bannaddiini

Fr. Simon Lokodo era nga ye minisita w’empisa, yalayidde okukola n’amaanyi ge gonna ekisoboka okulaba ng’empaka zino tezibaayo kubanga zityoboola ekitiibwa ky’Abakyala.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali yafulumizza ekiwandiiko ku lw’Ekkanisa n’asaba empaka ezo zisazibwemu. Yazivumiridde ne minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Kiwanda n’amutwaliramu n’asaba abantu bonna abaziri emabega okuzisazaamu.
“Zino zityoboola ekitiibwa ky’abakazi ne kaweefube waffe ng’ekkanisa gwe tuludde nga tulwanako ow’okusitula okusoma kw’abaana abawala n’abakazi kuba baamugaso mu nkulaakulana y’eggwanga n’amaka” Ntagali bwe yagambye. Ekikolwa ky’okwolesa obubina yakiyise kya nsonyi ekityoboola eggwanga n’ekitiibwa ky’amaka. Ekyakoleddwa yagambye nti kiraga ensi nti Uganda eseeseetuse okuva weebadde emanyiddwa.
Yasabye buli muntu okulwanyisa empaka zino zisobole okusazibwamu. Sylivia Nayebare (omubaka omukazi/Gomba) era ayogerera ekibiina kya UWOPA ekigatta ababaka ba Palamenti abakazi. “Ekyasinze okummalamu amaanyi kwe kubeera ng’abakazi be tulwanirira obutatyoboolwa ate bo baavuddeyo mu bungi nga tewali abakase ne balaga nti bakisanyukidde ekyakoleddwa.
Obuzibu obusinga obuli mu mpaka zino kwe kubeera nti zijja kwongera ebikolwa by’okutulugunya abakazi ng’okubakwata ku bubina ng’abantu babalaba ng’ekyobulambuzi”, bwe yayongeddeko.
Haji Abdu Nsereko Mutumba – Omwogezi wa UMSC, yeebuuzizza engeri empaka zino gye zigenda okusalibwamu kuba akyebuuza ekipimo n’omusazi ne by’agenda okusinziirako. “Empaka zino ng’Abasiraamu tebakkiriziganya nazo kuba zirimu okulaga ebitundu by’ensonyi ekitakkirizibwa mu ddiini”, bwe yakkaatirizza.
Yawabudde Kiwanda nti yandibadde afaayo ku bintu ebyazaawa nga enkumbi ehhanda okulaba nga binoonyezebwa ne biteekebwa mu makuumiro g’ebyafaayo kuba bigatta ku kumanya kw’abantu.

Yagambye nti abantu bwe bataalwanyise mpaka zino bajja kwesanga ng’olulala bategese n’empaka z’abasinga amatama ekinaddako kujja kuba kutegeka za bali bukunya.
Winnie Kiiza (omubaka omukazi / Kasese) Kiwanda asooke aleete mukyalawe amuteeke mu mpaka z’abavuganya n’abalala balyoke bajje. Kyokka naye simuwagira kumuteekayo kuba mukazi munnaffe.
Ekikolwa ky’aliko kitulaga nga ffe abantu abalina buvunaanyizibwa abaliwo okukozesebwa. Kiwanda mmusuubira okubeera nga yandibadde yeetondedde dda abakazi ba Uganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu era n’atakoma awo, wabula n’alekulira.
Daudi Malagala (Katikkiro w’ekika kye Mbwa) Minisita bye yatongozza bivvoola obuwangwa n’eddiini. Birimu ba mpaane, ekibi nti minisitule agitwala nga maka ge. Akola nnyo ebintu nga teyeebuuzizza ku mukama we.
Nga twakamala empaka z’obwannalulungi ezaakaggwa era nga zituweesa ekitiibwa. Alinga agamba nti Abenakyo y’asinga akabina akanene mu Afrika yonna. mu makuumiro g’ebyafaayo kuba bigatta ku kumanya kwa bantu.

Leave a Reply