Engineer ne nannyini kizimbe ekyatta abantu 13 basimbiddwa mu kkooti

Jppppp

Abraham Kalanzi 31, nannyini kizembe ekyaggwa nekitta abantu 13 mu zzooni y’e Kiwempe mu Makindye yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’e Makindye ow’Eddaala erisooka Edith Mbabazi wamu ne Engineer Christopher Bandi Ruhambya 55 basomeddwa emisango okuli okuzimba ekizimbe nga tebalina lukusa, okuviirako akabenje wamu n’okugaana okugoberera ekiragiro ekyali kibayimiriza okuzimba mu December 2019.
Bano baguddwako emisango 19, wabula emisango byagyegaanye era nebateebwa ku kakalu ka Kkooti. Nga bayita mu Bannamateeka baawe okuli Anthony Wameli ne Rodgers Muhumuza bano basabye beyimirirwe, nga Wameli yategeezezza nga nti emyaka gyalina akuze ate nga alina n’ekirwadde ekimubala embiriizi ekitamusobozesa kubeera mu kkomera.
Bano baleese ababeyimirira nga Kalanzi yaleese mukazi we Flavia Nakasaga, John Paul Tumukunde nga Accountant wa Salova International Builders Uganda limited ate y’e Ruhambya yaleese muganda we era omusuubuzi Edward Atugonza ne John Ssimbwa eyaliko omubaka.
Bano bateereddwa ku kakalu ka Kkooti kakadde kamu n’ekitundu akobuliwo.

Leave a Reply