Radio Simba ng’ eyita mu Pulogulaamu yaayo enganzi ebaawo ku buli nkomerero y’omwaka emanyiddwa nga Engule, egenda mu maaso n’okweriisa enkuuli mu kutumbula eby’obulambuzi mu bannayuganda naddala abawuliriza baayo nga eyita mu nteekateeka ya Kkoodi kkoodi ebaawo buli mwaka
Ku mulundi guno babbakkoodikkoodi abasoba mu 120 baabitaddemu ebiraato ku lwokuna lwa Ssabbiiti ewedde neboolekera ebizinga kkulaamalungi eby’e Zanzibar ebisangibwa mu ggwanga lya Tanzania ebisomboola abantu okuva ebule n’ebweya omuli n’abazungu abaggya okulaba ebingi ebyewuunyisa ku kizinga kino.
Ekizinga kino kijjukirwa nnyo okuviira ddala ku mulembe gwa Sultan mu biseera Abafirika webaatundibwa mu buddu nga bakungaanyizibwa okuva mu mawanga ga Africa ag’enjawulo, nga bakungaanyizibwa e Bagamoyo ate oluvannyuma ne boolekezebwa e Zanzibar awaali akatale gaggadde.