Enkuba etonnye e Kayunga erese amayumba agasoba mu 50 ku ttaka

Namutikwa w’enkuba eyabaddemu kibuyaga ow’amaanyi yalese abantu abawerako ku Gayaaza mu Gombolola y’e Bbaale mu Disitulikiti y’e Kayunga nga bafumbya miyagi. Amaka agasoba mu 50 galekeddwa tegalina wegegeka luba wamu nakokuzza eri omumwa oluvannyuma lw’amayumba gaabwe okusuulibwa kibuyaga wamu n’okwonoona ennimiro zaabwe.
Ssentebe w’ekyalo kino Mw. Mugumirwa Nelson awanjagidde Gavumenti okuvaayo okuyamba abatuuze be kuba embeera gyebalimu eyungula ezziga. Omubaka wa Palamenti akiirira Bbaale Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Charles Tebandeke atuseeko ku kyaalo kino nasaasira abatuuze abakoseddwa era nabasuubiza okutuusa ensonga yaabwe mu Palamenti n’ekigendererwa eky’okulaba nga Abatuuze bano badduukirirwa mu bwangu Minisitule y’ebigwa bitalaze wamu ne Offiisi ya Ssaabaminisita.
Leave a Reply