Enkuba eggoyeza ekyaalo ky’e Kabingo mu Ggombolola y’e Kyazanga mu Disitulikiti y’e Lwengo n’ereka ng’egoyezza ennimiro z’abatuuze abasoba mu 350.
Ebirime okuli ebitooke, kasooli, ebijanjaalo, ebinyebwa, kkawo, muwogo, lumonde n’obummonde byonna mukoka n’omuzira bibisaanyizzaawo.
Enkuba eno yattonyedde essaawa ng’emu enkya yeggulo.