Wabaddewo vvaawo mpitewo mu kibuga Mityana n’ebitundu ebyetooloddewo abantu bwebafubutuse emisinde nga baagala okukuba eriiso ku nnyonyi ey’ekika kya nnamunkanga esoose okwetoloola ekibuga,n’oluvannyuma n’egwa okumpi n’ekibangirizi ekiri ku ddwaliro ekkulu e Mityana.
Ennyonyi eno tetegeerekeseeko kigendererwa naye ng’abantu bangi beekulumuludde nga abamu balowooza nti obolyawo Pulezidenti Museveni y’azze okulambula eddwaliro ly’ e Mityana okulaba engeri abasawo gyebatambuzaamu emirimu.
Kyokka abalala babadde babugaanye essanyu okukirako ery’omwoki wa gonja olw’okulaba ku nnyonyi.
Wabula abamu bagambye nti abasawo ku ddwaliro ery’ e Mityana babadde ku bunkenke nga balowooza nti omukulembeze nabo azze kubakwata ku nkoona nga bwekyali mu bitundu by’e Wakiso .
Wabula wabaddewo okusitula kw’enfuufu n’omusinde ogubadde guva mu nnyonyi eno kyokka nga mpaawo muntu yenna aseguka naye nga tewali muntu yenna ategedde kigendererwa kya nnyonyi eno era emazeewo eddakiika wakati w’essatu n’ettaano ne yejjawo .
Lino litusakiddwa Joseph Balikuddembe .