Ennyumba za Poliisi muzaamuke – Poliisi

Poliisi eragidde abasirikale baayo bonna ababeera mu Baracks za Poliisi mu bitundu eby’enjawulo gyebatakolera okuzaamuka mangu oba okusuulibwa ebweru olunaku lw’enkya. Ekiragiro kino kyewereddwa abaduumizi ba Poliisi okwetoloola eggwanga lyonna okukikola bunnambiro.
Abasirikale abamu benyamivu naddala mu Kampala n’emiriraano bagamba nti Poliisi ezimu gyebatwalibwa teri mayumba mwebagenda kusula. Ebiragiro bya Poliisi bigamba nti abasirikale abali ku maddaala agawansi balina kusula mu Barracks. Wabula abasirikale 36,013 tebalina nnyumba mwebasula.
Okusinziira ku SP Samson Lubega nga yemwogezi w’ekitongole kya Poliisi ekyebikwekweto agamba nti waliwo abasirikale abamu abalina ennyumba ebbiei oba nga balina emu eri mu kifo ekibanguyira nga era bakeera kugenda gyabasindikibwa.

Leave a Reply