ensimbi eziva mu misolo zakweyongera – kasaija

Gavumenti esuubira okwongera ku bungi bw’ensimbi z’esolooza mu misolo mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja (gutandika mu June 2019) mu kawefube w’okukendeeza okwewola ensimbi z’okuyimirizaawo emirimu gyayo.
Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija ategeezezza nti gavumenti egenda kwanjula entegeka empya ez’okwongera ku bungi bw’ensimbi z’ekung’anya okuva munda mu ggwanga kiyambe okukendeeza ku nsimbi ze yewola.
Uganda kati ebanjibwa obuwumbi 41,326 nga ku zino 27,939 zigibanjibwa mawanga g’ebweru n’endala 13,386 nga yazeewola okuva munda mu ggwanga. Era yagambye nti gavumenti egenda kwongera okwegendereza nga yewola ssente z’okukola emirimu egitali gimu ng’essira erissa ku ebyo ebisinga okugasa abantu okugeza enguudo , ebyobulamu,ebyenjigiriza,amasanyalaze n’ebira.
Bino Kasaija yabitegeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza ekikwata ku mabanja agabanjibwa Uganda nga kyadiridde ebyayogeddwa Ssababalirizi w’ebitabo bya Uganda John Muwanga eyagambye nti olufubanja lw’amabanja Uganda lw’erimu lweralikiriza.
Kyokka Kasaija yagambye nti amabanja agabanjibwa Uganda teganatuuka weralikiriza nnyo n’agamba nti gavumenti egenda kwongera okutema empenda z’okulaba ng’ensimbi ezijibanjibwa tezipaala.
Muno mweyakonedde ku ntegeka empya ez’okulaba ng’eyongera ku bungi bw’ensimbi z’eyingiza mu bajeti ng’ezijja munda mu ggwanga nga teyewoze. Entegeka zino ezimanyiddwa nga ‘’ Domestic Revenue Mobilization Strategy’’ zakutandika okukola omwaka gw’ebyensimbi ogujja (gutandika mu June 2019) nga zakutambula okumala emyaka ettaano. Kino kisuubirwa okwongera ku bungi bw’emisolo egisoloozebwa mu ggwanga.
Yagambye nti omwaka 2017/18 wegwagweredde ng’enguudo eziweza kilomita 5,350 ze zaakakolwa. N’ayongera nti ensimbi gavumenti z’essa mu by’obulamu ziyambye okukendeeza ku bungi bw’abaana abafa nga bakazaalibwa,amasomera 650 n’enju z’abasomesa bye bizimbiddwa okuyamba okwongera okutumbula ebyenjigiriza

Leave a Reply