Ensimbi zitabudde abakulembeze mu Disitulikiti y’e Mubende

Ensimbi ezisoloozebwa ku batambuza ebisolo okubitwala mu butale mu Disitulikiti y'e Mubende, zitabudde abamu ku bakulembeze mu  Disitulikiti eno zebagamba nti zooleka obulyake n'okutulugunya abantu.

Nuwagaba Gordon nga ono y'akiikirira eggombolola y'e Manyogaseka ku lukiiko lwa Disitulikiti ​ y'e Mubende ategeezezza nti kyannaku okulaba nga tewali mutemwa gwa nsimbi ku bisolo ebitwalibwa mu butale okuli embuzi, ente n'endiga ekiviiriddeko buli ggombolola okubeera nga eteekawo ensimbi ezaayo ekinyigiriza abalunzi n'abatambuza ebisolo mu kitundu kino olw'obutabawo muwendo gufaanagana.

Annyonnyodde nti enkola eno ey'abavunanyizibwa ku bisolo okwesalirawo ensimbi bokka kiviiriddeko Disitulikiti y'e Mubende okufiirwa omusolo bw'atyo kwe kusaba wabeerewo etteeka erirambika enkola eno.

Leave a Reply