Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Anitah Among ensonga y’Omubaka MP Zaake Francis Butebi eyokukozesa olulimi oluvvoola era olutali lwa Palamenti agisindise mu Kakiiko ka Rules, Privileges and Discipline yeba egigonjoola ekomewo ne Alipoota mu wiiki bbiri.
Wabula ye Omubaka wa Disitulikiti y’e Amolatar Atim Agnes Apea avuddeyo nasaba Ababaka okutunula mu bigambo by’Omubaka Zaake ku Social media kuba tebirumba Sipiika yekka wabula abakyala bonna.”