Akubiriza olukiiko olukulu olw’eggwanga , Rebecca Alitwala Kadaga attukizza buto enteekateeka mweyayita gyebuvuddeko nga agamba nti ensonga y’okutulugunya abaana n’okubamalako emirembe tegwanidde kusaagirirwa kubanga emirundi mingi abaana bagenze bayisibwa mu ngeri nga eyo ate okukkakkana nga bafaafaaganye ng’entungo eyiika.
Kadaga bino abyogedde wakati mu kukubaganya ebirowoozo n’abamu ku babaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga nga batunuulira engeri y’okutyoboola eddembe ly’abaana ku mubala ogugamba nti “Kiki ekyetaagisa okukomya ebikolwa eby’obukambwe ku baana “.
Kadaga agambye nti obusiiwuufu bw’empisa bukutte wansi ne waggulu kubanga n’abazadde abamu abaali abantu bagenze bafuuka ebyetere.