Ssentebe w’akakiiko akabuuliriza ku bbanka ezaggalwa Abdu Katuntu atubuulidde nti akakiiko k’akulira aka COSASE ensonga za bbanka kazikutte n’obwengedereza bungi – nti era si kakujja nsonga za bbanka zino mu mawulire kubanga abantu balina okumanya ekigenda mu maaso. Ku lunaku lwa bbalaza bweyali kyajje atongoze kaweefube w’okulwanyisa enguzi n’okubba ssente za Gavumenti Pulezidenti Museveni yagambye nti akakiiko kano tekasaanye kwanika nsonga za bbanka zino mu mawulire