Gen. Mugisha Muntu: Ekitutuusiza okuva mu FDC nze n’abalala kwekulwanagana okutakoma okuva mu 2012.
Bwenalondebwa nga President wa FDC mu 2012, entalo nezitandika nga tulemeddwa okusalawo ku nkola ki gyetuba tugoberera gamba enkola eya ‘Defiance’ oba okusooka okuzimba ekibiina ku mitendera egyenjawulo.