Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omwana ow’emyaka 2 mu Disitulikiti y’e Kasese envubu gweyamize oluvannyuma nemusesema nga mulamu. Paul Yiga 2 nga abeera nebazadde be e Katwe-Kabatooro Town Council mu Disitulikiti y’e Kasese okuliraana ennyanja Katwe. Kigambibwa nti envubu okumumira yabadde azannyira okumpi n’ennyanja.
Abatuuze bwebamumazeemaze nga tebamulaba ate nga balengera envubu eyolekera amazzi kwekutandika okukuba enduulu eyabuli kika, era kigambibwa nti envubu yandiba nga yawulidde oluyogaano olususse kwekusesema omwana ono.