Minisita avunaanyizibwa ku mpisa n’obwesimbu Rev. Father Simon Lukodo agamba nti enteekateeka eneerambika obulungi ebikwatagana n’ enzikiriza ezitali zimu y’eneeyamba okuggyawo enzikiriza ez’amakoonezi ezeeriisa enkuuli ku kulya ku bakkiriza obulindo bw’ensimbi.
Lukodo agamba nti abakugu okuva mu Minisitule eno baatandise dda okubuuliriza ku nsonga ezitali zimu n’enzikiriza ez’enjawulo kibayambe okuvaayo n’omubumbirano ogunaaba amakula
Ffaaza Lukodo yabadde ayogereganyaamu n’omusasi wa Luboggola n’agamba nti enzikiriza ezimu zaava dda ku byawandiikibwa ebitukuvu nga kati zeekolera byazo nga omwo mwatwalidde ne Nabbi Samuel Kakande gwagambye nti aguza abagobererezi omuceere gwayita omutukuvu .
Agamba nti mu nteekateeka eno n’ebintu ebirala ebisinzibwa bijja kulambikibwa bulungi kubanga waliwo n’abantu abasinza ebintu ebitategeerekeka.