Omu ku Bannamateeka ba Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, Eron Kiiza eyaggalirwa emyezi 9 olwokunyomoola Kkooti y’Amaggye aleeteddwa mu Kkooti Enkulu gyeyaddukira ngayagala emuyimbule okuva mu kkomera e Kitalya oluvannyuma lwa Kkooti Ensukulumu okuwa ensala yaayo kukuvunaanira abantu babulijjo mu Kkooti y’Amaggye.
Bya Christina Nabatanzi