Kitalo!
Abantu 20 bebagambibwa okuba nga bafiiridde mu kubumbulukuka kw’ettaka mu Disitulikiti y’e Bulambuli. Enkuba eyatandise ku ssaawa ttaano ez’okumakya okutuuka akawungeezi.
Okubumbulukuka kw’ettaka kwayonoonye ensuku, ebidiba by’ebyennyanja wamu n’okutta ensolo. Enguudo n’entindo byonna byayononese. Amagombolola agasinze okukosebwa kuliko; Bulaago, Buluganya, Lusha, Simu, Nabiwutulu, ne Bumasobo.
Christopher Macheri, omumyuka wa ssentebe w’egombolola y’e Buffalo agamba nti okubumbulukuka kw’ettaka kwatandikidde mu Mountain Elgon Park.