Omugagga Hamis Massa nga musuubuzi e Nakasero mu Kampala akwattidwa okuva mu kakiiko k'omulamuzi Catherine Bamugemeirire lwa kutwala ttaka lya kibira kya Mbale Central Reserve.
Ettaka eryogerwako litudde ku kibanja 21 Church Road nga liwerako yiika nnya n'ekitundu.
Ono ebintu okumwonoonekera kiddiridde akakiiko okukizuula nti ebiwandiiko kweyafunira ekyapa ku ttaka eryo bigingirire ,ekiviiriddeko puliida w'akakiiko Ebert Byenkya okumutabukira olw'okumenya amateeka.
Oluvannyuma omulamuzi Bamugemereire, akulira akakiiko amulumirizza okwekobaana nebagagga banne ne batwala ettaka ly'ebibangirizi mu Mbale n'ajuliza Akakiiko k'ebyettaka aka Uganda Land Commission k'agambye nti kekaabawa ettaka.
Wano w'alagiriride Poliisi okumukwata olw'okulimba akakiiko era bwatyo natwalibwa.