Police e Mubende eri ku muyiggo gwa bantu abatannategeerekeka abasse bannaabwe n'emirambo nebagisosenka mu kitoogo ne mu kibira.
Abagenzi kuliko Mbaziira Zziwa ow'emyaka 20 era nga ono abadde muvuzi wa boda-boda nga abadde akolera ku stage yo mukyenda mu ggombolola y'e kitenga, no'mulala omu atannategeerekeka mannya nga ye omulambo gwe gusangiddwa mu kibira e Kisombwa mu ggombolola y'e Kibalinga mu Disitulikiti y'e Mubende.
Mbaziira Zziwa kati omugenzi, abadde avuga pikipiki ''Bajaj Boxer'' era nga kigambibwa nti waliwo abantu babiri abaamupangisizza abatwale e Kakumiro nga ono omulambo gwe gusangiddwa mu kitoogo ku mugga Nkuse ogwawula essaza lye buweekula ku Bunyoro.
Emirambo gyombiriri egibadde gijjudde ebiwundu ku mutwe ne mu bulago Police e Mubende egiggyeeyo n'egireeta mu ggwanika ly'e ddwaliro ly'e Mubende nga bwengenda mu maaso n'o kunoonyereza.