Ettemu lisattiza abakulembeze – Mubende

Ettemu erisukiridde erikolebwa ku batuuze e Mubende lisattiza ssentebe w’eggobolola y’ekigando nga n’abatuuze libatadde ku bunkenke .

Kino kiddiridde omuvubuka omu ali wakati w’emyaka 18-25 okusangibwa ku faamu y’omutuuze omu g’atemuddwa nga n’omulambo bagusuddeko embuzi gy’ateeberezebwa okubeera nga gy’abadde abbye .

Muzoola Aaro Ssentebe w’eggobolola ye Kigando mu diditulikitiye ye Mubende annyonnyodde nti ettemu luno limweraliikirizza olw’ensonga nti buli luvannyuma lwa sabbiiti wabaawo omutu attibwa mu kitundu era nga obuzibu buvudd kukubulwa ba Ssentebe b’ebyalo abakola . Wano awanjagidde Gavumenti okukola ku kulonda obukiiko bw’ebyalo obuggya mu bwangu okulaba ng’etaasa obuamu bw’abantu mu kitundu kino  .

Police y’e Mubende omulambo eguggyewo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mubende nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso .

 

 

Leave a Reply