Police e Kayunga egombyemu obwala omukazi wa myaka 23 eyabba omwana wa myezi esatu ku bazadde be ssabiiti bbiri emabega mu ggombolola y’e Busana.
Omwana ono yamubba ku bazadde be Wangolo Andrew ne Nabukeera Aidah nga batuuze ku kyalo Namukuma ekisangibwa mu Ggombolola y’e Busana mu Disitulikiti y’e Kayunga oluvannyuma lw’okwefuula ow’oluganda mu maka gano era olwamuwa omwana asitulemu ne yeemulula busota naye
Omusasi waffe Kato Vincent e Kayunga atutegeezezza nti omukazi ono atasiba zikweya nga ye Shadia Namwanje Nakato abuulidde Police nti yabba omwana ono asobole okumutwalira muganzi we gwabadde asiba akatambaala ku maaso nti alina olubuto lwe.
Police egamba nti Namwanje emukwatidde Kasawo nga yeekukumye ewa Ssenga we so nga n’omwana asangiddwa mu mbeera mbi era atwaliddwa mu ddwaliro ly’e Kayunga afune obujjanjabi .