Ekitongole kya Uganda Police Force ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango kyakutte John Mwangutsya, director wa Crypto Bridge African Limited ku bigambibwa nti yafera Bannayuganda obuwumbi obuwerera ddala 3.
Omwogezi wa CID Charles Twiine, agamba nti Mwangutsya yafera Bannayuganda abasoba mu 1000 wakati wa 2018 ne 2020 nga tanabulawo.
Okusinziira ku Poliisi, Mwangutsya yalanga ku mikutu egyenjawulo nga bweyali atunda bitcoins era nti baali bakufunamu nnyo.
Mwangutsya, yategeeza nga bizineesi ye bweyali entuufu nawa n’abantu abawerako emirimu nga agamba nti akikola ku lwa Kkampuni ya One Life company esangibwa mu Ggwanga lya Bulgaria nga eno ekola mu mobile wallets wansi wa blockchain technology. Abaweebwa emirimu bagibwa mu Kampala, Masaka, Wakiso, Kabarole, Bushenyi, Ibanda, Kagadi ne disitulikiti endala.
Bano abaweebwa emirimu balina okunoonya abantu okugula emigabo ku nnusu 1000 buli bitcoin nga babasuubizza okufuna amagoba.
Era nti abantu abaferebwa babasaba ssente obukadde 10 buli omu nga babasuubizza okufuna amagoba ga bitundu 6 ku buli 100 buli wiiki, era babawa emitwalo 80 ekyabasikiriza okuleeta banaabwe. Bwebaweza obuwumbi bw’ensimbi bwebaali baagala nebaggalawo offiisi zaabwe.
Mwangutsya bamukwatidde mu Disitulikiti y’e Ibanda ku Sunday bweyabadde ateekateeka okufuluma mu Yuganda ayingire Eggwanga lya Rwanda.
Poliisi esaba oyo yenna eyabibbwa Kkampuni ya Mwangutsya okugenda awe obujulizi ku Kitebe kya CID e Kibuli.
Twiine ategeezezza Bannayuganda nti mu Yuganda temuli kitongole kivunaanyizibwa mirimu gy’enkola ya Cryptocurrency wadde okubaawo amateeka agafuga wadde okuwandiisa enkola eno ekitegeeza nti enkola eno yakifere mu Yuganda.