Police e Busoga mu Disitulikiti y’ e Buyende eriko omusajja gwegombyemu obwala lwa kwekkiriranya n’afumbiza muwalawe ow’emyaka oluvannyuma lw’omuvubuka eyali amufunyisizza olubuto.
Okello Kakuusi kigambibwa nti yali yafuna akakadde kalamba okuva eri Masanga Mukisa eyali yafunyisa muwalawe olubuto wabula ate oluvannyuma neyeekyusiza mu kiti ng’embazzi n’amuwa omusajja omulala nga n’olubuto aluggyemu.
Okello yasaba Masanga akakadde kamu mu emitwalo asatu alyoke amuwe muwalawe ono era Masanga n’asasulako akakadde wabula ekimuggye enviiri ku mutwe kwekuleeta emitwalo asatu agaasigalayo n’asanga ng’omuwala baamumugabako, era ensonga kwekuzitwala ku Police.
Ye omwogezi was Police mu bitundu by’e Busoga, Afande Micheal Kasada agamba nti Okello agenda kuggulwako emisango omuli ogw’okuyambako okuggyamu olubuto, n’okufumbiza omwana atanneetuuka.