Police e Jinja kyaddaaki egombyemu obwala omusajja Mawazi Bogere ow'emyaka 42 agambibwa okutta muwala we wa myaka 14 n'oluvannyuma n'abulawo nga kino kyaliwo mu gw'omwenda gw'omwaka oguwedde.
Bogere, nga ono mutuuze wa ku kyalo Wakalege ekisangibwa mu ggombolola ye Mufubira yaddira muwalawe n'amujja mu buliri n'amutwala n'amusiba emiguwa n'atandika okumufumita ebiti mu bitundu by'ekyama n'oluvannyuma n'amukuba akabazzi ku mutwe n'afiirawo.
Police okuva olwo ebadde ku muyiggo gwa Musajja ono okutuusa olwaleero lw'etemezeddwako abantu abakolera mu katale e Jinja era bw'etyo n'esitukiramu ng'eyatega ogw'ekyayi n'emugombamu obwala era kati akuumirwa ku CPS e Jinja.