Eyalabikidde mu katambi ngatulugunya omwana akwatiddwa

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Kira Division bwetandise okunoonyereza ku kutulugunya omwana ow’emyaka 4 Tumwekwase Claire okwaliwo nga 27-December-2024 mu Kikoko Zone, Namataba Cell, Kirinnya Ward, Kira Municipality mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Kigambibwa nti Tumuhirwe Precious 35, nga abadde akola ng’omukozi wa waka alabikira mu katambi nga atulugunya omwana akwatiddwa mu Disitulikiti y’e Kabale nga akuumirwa ku Central Police Station e Kabale ngenteekateeka zigenda mu maaso okumukomyaawo ku Kira Division. Omwana mu kaseera kano ali mukujanjabibwa mu Ddwaliro e Nsambya.
Okunoonyereza kulaga nti Mwesigwa Micheal 35, yabadde alabirira omwana we oluvannyuma lwokwawukana ne maama w’omwana emyaka 2 egiyise.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply