Eyali omubuka wa Nansana Municipality Wakayima asimatuse ekkomera

Eyali omubaka wa palamenti owa Nansana munisipaali, Nsereko  Musoke Wakayima asimattuse ekkomera lwa bbanjja lya bukadde 12 erimulemye okusasula.

Mu kulonda okwaliwo mu feb wa 2016 Wakayima yalangirirwa ku buwanguzi bw’omubaka wa Nansana munisipaali, wabula Robert Kasule Ssebunnya naddukira mu kkooti ng’awakanya obuwanguzi bwe oluvannyuma lw’okutegeeza kkooti nti amannya ge agaali ku biwandiiko gaali tegakwatagana n’ago geyawaayo mu kakiiko k’ebyokulonda.

Ono yategeeza nti erinnya lya Wakayima tewali werilabikira wonna ku biwandiiko bye n’ebyobuyigiriza kyokka bweyali yewandiisa yaligattako omulamuzi weyasinziira n’ategeeza nti kyali kikyamu era Wakayima aggyibwe mu Palamenti Robert Ssebunya alangirirwe ku kifo ky’obubaka bwa Nansana munisipaali n’oluvannyuma aliyirire Ssebunnya  ssente zonna zeyakozesa obukadde 153.

Wakayima ssente zino azze azisasula era webutuukidde olwaleero ng’abuzaayo obukadde 12 bwokka ezikyamulemye okusasula okumalayo

Wakayima abadde azze mu kkooti okuwulira omusango omusango gw’abawagizi be gwe bawawaabira Ssebunnya nga bawakanya ensalawo y’omulamuzi eno gy’asanze bawannyondo ba kkooti ne bamukwata nga baagala asasule obukadde 12 obasigala nga bumubangibwa wabula nga tazirinaawo mu kiseera kino.

Ono bawannyondo bamuwazeewaze ppaka mu kkooti era bwatuuse mu kkooti ategeezezza nti ssente zonna ezimubangibwa azimanyi bulungi era mwetegefu okuzisaula wabula embeera y’ebyenfuna yekyamulemsezza okuzimalayo ebbanga lino

Wakayima ategeezezza nti eky’okumukwata ne bamusiba tekigenda kubayamba kubanga mu kkomera abeera takola wabula bamukkirize anoonye ssente zaabwe mpola mpola.

Oluvannyuma bakkirizigannyiza wakati w’omulamuzi ne puliida wa Ssebunnya Keneddy Ben Lule okukkiriza Wakayima okusasula ssente mu bitundutundu era nga ssente ezisooka ajja kuzisasula ku momday obukadde 6, nga June 4, asaule obukadde busatu ezisigadde azisasule nga 25 Aug.

Leave a Reply