Abadde omumyuuka wa Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kayunga Mw. Kayiira Joel kyadaaki akwasiddwa ofiisi yeyali Ssentebe wa Disitulikiti eno Mw Ffefekka Sserubogo Muhamadi eyaffa gy’ebuvuddeko. Mw. Kayira wakuddukanya ofiisi eno okumala emyeezi 6 oba n’okweyongerayo okutuusa nga akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okulonda mu Ggwanga lwekalirangirira okuddamu okulonda omuntu omulala anadda mu ofiisi ya Ssentebe.
Bwabadde nga amukwasa offiisi eno mu butongole, akulira abakozi mu Disitulikiti eno Muky. Adongo Roseline Luhoni agambye nti nga bulijjo amateeka agafuga Gavumenti ez’ebitundu galagira singa omukulembeze yenna affa oba afuna obuzibu bwonna, omumyuuka we yaaba akwasibwa obuvunaanyizibwa okutuusa lwebalonderamu omukulembeze omugya.
Ye Mw Kayiira Jowelo asuubizza okutwaala mu maaso emirimu gyonna omugenzi Ffefekka Sserubogo gyeyali asuubizza okukola mu kisanja kye kino ekyemyaka 5.