Eyali Secretary wa Soroti University Ruth Achimo Etibot yasindikiddwa ku mmeere amaleyo emyaka 5 oluvannyuma lwokusingibwa omusango gwobulankanya ensimbi za University ezisoba mu kawumbi 1.
Kkooti ewozesa abalyake nabakenuzi eyakubiriziddwa Omulamuzi Margaret Tibulya yeyasinzisizza Achimo emisango okuli okukozesa obubi offisi ye, emisango 2 ogwokukyuusa ensimbi za Gavumenti ezalina okukola ekintu ekirala nazikozesa ekirala n’omusango gumu ogwokujingirira embalirira.
Achimo yali akola nga Accounting Officer era nga ye Secretary wa University yasooka kuvunaanibwa ne Edward Obeele eyali University Bursar. Wabula Obeele yakiriza emisango era nasaba okuteesa gyayasalirwa ekibonerezo kyakusasula ngasi. Oludda oluwaabi nga lukulemberwamu James Khaukha lwagenda mu maaso n’omusango okuvunaana Achimo.
Oludda oluwaabi lwaleese obujulizi obulaga nti Achimo ngakola nga University Secretary/Accounting Officer yateeka omukono ku ndagaano kulwa University ne Okurut & Company Advocates okuwa University obuweereza obw’amateeka nga tayise mu nkola entuufu. Eno yali emu ku Kkampuni ezaali ziyiseemu okulondebwako.
Okusinziira ku bujulizi obwaweereddwa Kkooti Achimo yakozesa ekifo kye nga Accounting Officer nasasula Kkampuni eno ensimbi 1,025,265,000/= nga zaali za buweereza obw’amateeka bwa myezi 3. Kigambibwa nti ensimbi zino zaali za Capital Development kuba obuweereza obw’amateeka tebwali mu mbaalira y’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 wezakyuusibwa.
Kigambibwa nti era Achimo yakyuusa ensimbi okuzizza ku busiimo bw’abakozi n’ensaasanya endala etaali mu mbalirira.
Kkooti yategeezeddwa nti kino kyaleetawo ebbula ly’ensimbi ku pulojekiti eziwerako era University yalina okusasula engasi eri ba Kkontulakita abatasasulwa mu budde.
Ono nga wadde ensimbi yazisaasanya ku bintu ebitaali mu mbalirira wabula yagenda mu maaso mu Alipoota ye nalaga nga ensimbi za capital development funds bwezasaasanyizibwa ku capital development projects, ekitaali kituufu.
Ono yakiriziganyizza n’ensalawo yaba Court Assessors ku misango egyamusingisiddwa. Achimo era takirizibwa kukola mulimu gwonna gwa Gavumenti okumala emyaka 10.