Namwanje Stella 33 ngono yeyaliisa omwana empita mbi ssaako n’okumunyweesa omusulo eyalabikira mu katambi, Omulamuzi wa Kkooti Ento e Masaka Aloysius Natwijuka Baryeza amuwadde ekibonerezo kyakusibwa emyaka 35.
Omulamuzi ategeezezza nti ono aweereddwa ekibonerezo ekikakali asobole okubeera ekyokulabirako.