Nga November 7, 2018 eyali akulira ebyenjigiliza ku ssomero lya Kasubi SSS Patrick Mutiri Juma 45, yakkakkana ku mukyala we Aidah Nabuufu omukozi mu Bbanka ya Pride Micro- Finance e Nateete n’amutemaatema, okumusalaasala feesi n’oluvannyuma n’amukuba emisuumaali esatu mu mutwe.
Oluvannyuma bwe yalowooza nti, amusse n’adduka era okuva kw’olwo abadde aliira ku nsiko.
Ronald Kavuma mwannyina wa Nabuufu ategeezezza nti, mukoddomi we Mutiri abadde amukubira essimu ez’okumukumu ng’abanja mukyala we baddihhane era asobole okumwetondera ku kye yamukola kubanga yamwanjula era tebamubanja kintu kyonna.
Yagambye nti buli lw’abadde abakubira essimu nga tayogera kifo w’asinziira wabula nga nabo tebamulaga bukambwe bwonna nga bakimanyi bulungi nti essaawa yonna balina okumukwata avunaanibwe omusango gwe yazza.
Yayongeddeko nti okuva bwe yatandika okubakubira essimu babadde bamulondoola era babadde baakamuzinduukiriza emirundi esatu naye ng’abeemululako.
Kavuma ategeezezza nti, yabadde atutte omwana we ku ssomero lya Rinnet Secondary School e Namusera omukozi w’awaka Janat Nakagoro n’alaba Mutiri ne batemya poliisi okujja okumukwata.
Mu kiseera kino Kavuma agamba naye kennyini yagenze okumagamaga n’amulaba n’amulumba n’amwekwatira ne batandika okulwana n’emmotoka ya poliisi weyatuukidde ne bamukwata n’atwalibwa ku poliisi y’e Wakiso gye yaddiza omusango.