Ronald Mutaka 38, nga ono abadde Parish Chief wa Kigalama Parish, mu Sub
– County y’e Namutumba mu Disitulikiti y’e Namutumba yasangiddwa ku
lunaku olw’okusatu nga alengejera ku muti gw’omuyembe.
Mutaka
okweyimbamu ogwa kabugu kyavudde ku mukyala we okumutegeeza nga bwalina
olubuto lwe. Rogers Mutaka nga ono muganda wa Mutaka agamba nti mugande
we oluvannyuma lwakabanga nga ali ne mukazi we wabula nga tamufunyisa
lubuto yagenda mu basawo abakugu yebuuze ekyamutuukako era eyo gyebakamutemera
nga bwatakyasobola kuzaala olw’enkola y’okukutula obuseke gyeyagendako
nga akyali muvubuka etasobola kumukirizza kuddamu kuzaala wadde nga
emirimu gy’ekisenge yali akyasobola okugikola obulungi. Ono bweyavaayo
teyabuulirako mukyala we.
Mutaka agamba nti babadde basazeewo
okugenda okulaba omusawo ow’ekinnansi balabe oba asobola okumuyamba nga
era ekizibu kino eky’obutaba na mwana abadde akigumidde emyaka 15 nga
ali mubufumbo era nga mukyala we abadde akiddingana lunye nga bwagenda
okunoba singa tamufunyisa lubuto.